Poliisi e Mubende ekutte omuwala ali mu gy’obukulu 18 ku by’okutta nnyina amuzaala nga kivudde ku butakaanya awaka.

Omuwala Nannyonga Bridget, yakwattiddwa ku by’okutta nnyina Kyomuhendo Anastasia myaka 43, abadde omutuuze ku kyalo Kannyogoga mu disitulikiti y’e Mubende.

Okusinzira ku Turyagyenda Vincent omu ku batuuze, omugenzi Kyomuhendo ne muwala we Nannyonga baludde nga balina obutakaanya ku nnyumba gye basulamu nga buli omu agikaayanira.

Omuwala Nannyonga agamba nti kitaawe, yagimulekera nga tannafa era y’emu ku nsonga lwaki nnyina abadde amugobamu.

Ate Kusemererwe Fortune nga naye mutuuze ate neyiba, agambye nti okulwanagana kwatandikidde munda era webaatukidde okutaasa, ng’omukyala yenna akubiddwa atonya musaayi, ekyavuddeko okufa kwe.

Poliisi egamba nti, okunoonyereza kulaga nti Kyomuhendo yakubiddwa emiggo ku mutwe emirundi egiwera era omuggo guzuuliddwa ssaako n’eccupa z’omwenge.

Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro e Mubende okwekebejjebwa ate omuwala Nannyonga akwattiddwa ku misango gy’obutemu.

Rachael Kawala omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza.

Wabula omu ku batuuze agaanye okwatuukiriza amannya ge agambye nti omuwala, abadde alina abalenzi nga nnyina amulemesa okubakyaza, ekyavuddeko obutakaanya era kiteeberezebwa olw’obusungu y’emu ku nsonga lwaki yamusse wadde yekwasa ensonga y’ennyumba.