Poliisi ekutte ssemaka ku misango gy’okudda ku mwana omuto, namusobyako.
Ssemaka Ndyanabo Fred myaka 55 nga mutuuze ku kyalo Luvumbula mu ggombolola y’e Kiringete e Mpigi yakwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana wa neyiba we ali mu gy’obukulu 11.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ssemaka yasobezza ku mwana ku shs 1000 lwe yamuwadde.

Enanga agamba nti ssemaka Ndyanabo yakwattiddwa ku musango gw’okujjula ebitannajja era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.
Alabudde nti okunoonyereza kulaga nti abantu b’omu nju bebasinga okwenyigira mu kulimbalimba abaana okubasobyako.
Eddoboozi lya Enanga