Kyaddaki kkooti enkulu mu Kampala ewozesa emisango gyanagomola ekiriza munnamagye eyeegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino Lt General Henry Tumukunde okweyimirirwa ku bukadde 50 ezitali za buliwo.

Omulamuzi Wilson Kwesiga amuyimbudde enkya ya leero.

Mungeri y’emu omulamuzi era asabye obukadde 50 buli omu nga si za buliwo ku bantu abamweyimiridde okuli mukyala wa Tumukunde Stella Tumukunde, muganda we Hanninngton Karuhanga ne mukwano gwa famire Matthew Rukikaire.

Tumukunde ng’ali ku misango gya kulya mu nsi lukwe n’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli emmundu mu ngeri emenya amateeka, Omulamuzi Kwesiga amulagidde okuwa kkooti Paasipooti ye era alina okweyanjula mu kkooti omulundi gumu buli mwezi.

Tumukunde era bamulagidde okweyanjula mu maaso g’omulamuzi omukulu ku City Hall Valerian Tumuhimbise nga 20 omwezi guno Ogwokutaano, okwongezaayo okweyimirirwa kwe ku musango gw’okusangibwa n’ebyokulwanyisa.

Omulamuzi Kwesiga era agobye okusaba kw’oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Lino Anguzu nti okuyimbula Tumukunde kuyinza okutaataganya okunoonyereza.

Tumukunde yakwatibwa nga 12, Ogwokusatu, 2020 era abadde ku limanda mu kkomera e Luzira nga yasaba okweyimirirwa ng’ayitidde mu bannamateeka be Anthony Wameli, Alex Luganda ne Geoffrey Turyamusiima ku nsonga omuli musajja akuliride mu myaka, eyeegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga nga yetaaga obudde okwebuuza ku bantu, alina famire n’ensonga endala.