Omuserikale wa Local Defense Unit (LDU) Asuman Juma Musuya asindikiddwa mu kkomera okusibwa emyaka 3 lwa kutta munne nga bali ku mulimu.

Musuya yasimbiddwa mu kkooti y’amaggye ga Uganda People’s Defense Forces-UPDF ey’ekibinja ekisooka ku kitebe ky’amaggye e Kakiri era omusango yagukkirizza.

Musuya yategezezza kkooti eyabadde ekubirizibwa abalamuzi 8 nga bakulembeddwamu Col. Sam Mugenyi nti yafulumya essasi eryatta munne Mamuli Atanansi mu  butanwa bwe yali alongoosa emmundu ye.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Capt. Ketigan Mugisha lugamba nti Musuya yatta Atanansi ku kyalo Namanve mu disitulikiti y’e Mukono bwe baali basindikiddwa okukuuma ku Fakitole ya munnansi we China.

Omwogezi w’ekibinja kya UPDF ekisooka Maj. Yusuf Bilal Katamba era avunaanyizibwa ku nsonga za LDU agamba nti Musuya yayolesa obulagajjavu obususse okutunuza mu muntu emmundu nga tamaze kwekeneenya oba waliwo amasasi agali mu Chemba.

Kkooti mu kuwa ensala, esinzidde ku bintu eby’enjawulo omuli obujjulizi obuleeteddwa ne Musuya okukirizza omusango, okumusiba emyaka 3.