Poliisi y’e Soroti ebboye pikipiki 60 mu kikwekweeto ekikoleddwa mu nnaku 3.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye East Kyoga, ASP David Ongom, pikipiki ezikwatiddwa bannanyinizo baasangiddwa nga batambula mu ssaawa za Kafyu, okutambuza abantu n’ezimu nga teziri mu mbeera nungi.
Poliisi egamba nti mu kiseera kino okususulamu pikipiki kutandikiddewo era bannanyinizo balina okuleeta ebiwandiiko ebikwata ku pikipiki zaabwe ssaako ne Densite y’eggwanga.
Ongom agamba nti abantu abaakwattiddwa, bakutwalibwa mu kkooti essaawa yonna ku misango gy’okugyemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eby’okutangira Kolona okusasaana.
Uganda mu kiseera kino eri abalwadde 136 wabula abasukka 60 basiibuddwa.