Ekibiina ekikutte enkasi okulembera eggwanga lino ki NRM, kigamba nti obuli bw’enguzi y’emu ku nsonga lwaki bakyalemeddwa okutuukiriza Manifesito y’ekibiina eyaloondese ssentebbe w’ekibiina kyabwe Yoweri Museveni okuddamu okulembera eggwanga lino.
Ekyama, kibikuddwa Ssaabaminisita wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda, bw’abadde atoongoza wiki ku offiisi ze mu Kampala, bannakibiina kya NRM gye bageenda okweyambisa okulaga ebituukiddwako okuva 2016.
Rugunda agamba nti singa tebadde nguzi mu Gavumenti n’ebitongole byayo, NRM yandibadde yatuukiriza dda ebitundu 80 ku buli 100 bisuubizo byaayo ebya 2016 nga banoonya akalulu.
Mungeri y’emu agambye nti Gavumenti, ekoze ebintu eby’enjawulo okulwanyisa obuli bw’enguzi omuli n’okuteekawo akakiiko mu offiisi y’omukulembeze w’eggwanga akalwanyisa obuli bw’enguzi akaduumirwa Lt. Col. Judith Nakalema n’ekigendererwa eky’okulongoosa entambuza y’emirimu.
Sabiti eno ku Lwokubiri, nga 12, omwezi guno Ogwokutaano, Museveni yawezezza emyaka 4 bukya addamu okulondebwa ng’omukulembeze w’eggwanga lino mu 2016.
Wabula Rugunda agamba nti newankubadde enguzi ekyabalemesezza n’okweyongera, bingi ebituukiddwako omuli okuzaawo ennyonyi z’eggwanga, okuzimba Isimba ddaamu, eddwaaliro e Mulago, ebyenfuna okweyongera okutinta, okuzimba enguudo n’ebirala.