Mu kiseera ng’omugagga Bryan White (Brian Kirumira) ali mu buzibu, ku bigambibwa nti abadde atyoboola eddembe ly’abakozi be abawala omuli Stella Nandawula ne Vivian Matanda nate ebipya bizuuse.
Nandawula ne Vivian bagamba nti Bryan White abadde abakaka akaboozi, okubakuba n’okubasuubiza okubatta, okumala emyaka egisukka 2.
Mu kiseera kino ensonga ziri ku Poliisi era okunoonyereza kugenda mu maaso.

Wabula Vivian bwe yabadde ku NBS TV yewunyisizza abantu, okulaga nti okwegatta ne Bryan White yakikola mu kwetaasa nga tewali amukase.
Vivian agamba nti yali muwala muto ng’anoonya ssente zimutwala ku yunivaasite ne bamutegeeza nti okufuna omulimu mu kibiina kya Bryan White, ‘Bryan White Foundation’, alina okwegatta n’omugagga Bryan White.
Yali asuubiziddwa omulimu omulungi n’okufuna omusaala omusava era yakkiriza okunyumya akaboozi ne Bryan White nga tewali amukase kuba yali ayagala mulimu.

Vivian era agamba nti omugagga Bryan White yamusuubiza ebintu bingi nnyo omuli okumugulira ettaka, okumuzimbira amaka amalungi, emmotoka n’ebintu ebirala kyokka yali amulimba.
Mu myaka egisukka 2, Vivian agamba nti Bryan White amugyemu embuto 3.
Ensonga ya Vivian eriko ebibuuzo bingi okuva mu bannayuganda ebyetaaga okwanukulwa mu bwangu.
1 – Lwaki Vivian yeegatta ne Bryan White olw’omulimu kuba yali akimanyi kikyamu nnyo?
2 – Vivian abadde alina essimu, lwaki abadde takubira Poliisi okuyambibwa?
3 – Abadde mu laavu ne Bryan White oba?
4 – Yamwagala lwa ssente oba mulimu?