Poliisi mu disitulikiti y’e Kitgum ekutte taata ku by’okutta muwala we.

Geoffrey Okot myaka 54 yakwattiddwa nga mutuuze ku kyalo Ocubu Latara mu ggombolola y’e Amida ku by’okutta muwala we ali mu gy’obukulu 15 akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo bwe yabadde amugunjula ng’omuzadde.

Kigambibwa omwana Patricia Atim ng’ali mu kibiina kya mukaaga (P6) yabula akawungeezi k’olunnaku olwomukaaga era kigambibwa omuwala yabadde agenze wa mulenzi we ku kyalo Lamola.

Wilfred Nyeko ssentebbe we ggombolola y’e Labongo Amida agamba nti omwana Atim yasoose kukubibwa baganda be kyokka oluvanyuma beegatiddwako kitaabwe Okot.

Kigambibwa taata yabadde atamidde era yasambye omwana mu  kabutobuto n’omutwe, era omwana yafiiriddewo.

Okusinzira kw’alipoota y’abasawo ku ddwaaliro e Kitgum, omwana Atim yakubiddwa nnyo omutwe, embirizi, obulago era y’emu ku nsonga lwaki yafudde.

Robert Oken akulira ekitebe kya Poliisi e Kitgum agambye nti taata Okot ali ku poliisi y’e Labongo Amida ku misango gy’obutemu.