Abavubi 60 bakwattiddwa mu disitulikiti y’e Hoima ne Kikuube lwa kugyemera biragiro bya Mukulembeze w’eggwanga.

Abakwate basaangiddwa ku Lake Albert nga bali mu kuvuba obudde bw’ekiro mu ssaawa za Kafyu.

Mu kikwekweeto ekikulembeddwamu amaggye ne Poliisi, abakwate bagiddwa mu ggombolola okuli Kaiso, Mbegu, Kabwoya ne Kabaale.

Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Albertine agambye nti bonna abaakwattiddwa bali ku Poliisi y’e Kaiso, gye bageenda okugibwa okutwalibwa ku kitebe kya Poliisi e Hoima.

Mungeri y’emu agambye nti mu kikwekweeto baakutte amaato 17 ag’enkasi, 7 aga yingini ne sola 30 ez’amasanyalaze g’amaanyi g’enjuba ezikolera ku baatule.

Hakiza agamba nti abakwattiddwa bali ku misango gy’okugyemera ebiragiro ne batambula mu ssaawa za Kafyu.