Ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akawungeezi ka leero, agenda kuddamu okwogerako eri eggwanga ku ssaawa 2 ez’ekiro.
Okusinzira ku Don Wanyama, munnamawulire wa Pulezidenti Museveni, mukama we agenda kuddamu okutangaza ku nsonga ze yakonyeko mu kiro ekikeseza olwa leero.
Kigambibwa, ensonga ezimu bannayuganda tebaazitegedde bulungi ekiyinza okuvaako okusika omuguwa wakati waabwe n’ebitongole byokwerinda ebiri mu kuteeka mu nkola ebiragiro ebiyisiddwa.
Mu kwogera kwe, Museveni yakirizza emmotoka z’obwannanyini okuddamu okutambula nga buli emu ettika abantu 3, emmotoka ez’olukale omuli Takisi okuddamu okutambuza abantu kyokka nga bakendezeddwako kimu kya kubiri, nga balina okulinda Gavumenti okubawa Masiki ez’obwereere mu nnaku 14, era balina okuddamu okuvuga ebiduuka byabwe nga 2, omwezi ogujja Ogwomukaaga.
Essaawa za Kafyu, okuva ku ssaawa 7 ezakawungeezi okutuusa 12 n’ekitundu ez’okumakya zayongezeddwayo ennaku 21.
Abayizi mu kibiina eky’omusanvu (P7), S4, s6 n’abali ku matendekero aga waggulu abali mu mwaka ogusembayo, yabakkirizza okudda ku massomero.
Bodaboda ne Tukutuku tannaba kuzikkiriza kuddamu kutambuza bantu wabula okweyongera okutambuza ebitereke.
Kigambibwa ezimu ku nsonga ze yakonyeeko abamu ku bannayuganda tebaazitegedde bulungi era y’emu ku nsonga lwaki akomawo ku ssaawa 2 ez’ekiro okuddamu okuzirambulula.