Bya Nalule Aminah

Poliisi eri mu kunoonya abatemu, abaatemyeko omwana myaka 6 omutwe.

Omwana Mwijukye Kelvin abadde mutabani wa Rwomushana Edward, yabadde agenda wa jjajjaawe, abatemu ne bamuteega mu kkubo ne bamutemako omutwe ku kyalo Kyamugasha cell mu tawuni Kanso y’e Kinoni e Rwampara.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ebitongole ebikuuma ddembe bitandiise okunoonya abatemu abenyigidde mu kutemula omwana omuto.

Taata Rwomushana wakati mu kulukusa amaziga asabye Poliisi okunoonya abatemu okuzuula lwaki omwana we yattiddwa kuba talina mpalana yonna ku kyalo n’abatuuze.

Eddoboozi lya Enanga