Poliisi y’e Kabale ekutte omukyala Florence Babwiye ku misango gy’okubulankanya ssente za muwala we obukadde obusukka mu 12.
Babwiye nga mutuuze ku kyalo Karugashe mu ggombolola y’e Kabale yakwattiddwa nga kivudde ku muwala we Pretty Kyomugisha okuddukira ku Poliisi y’e Kabale.
Kyomugisha agamba nti mu 2013, yagenda mu ggwanga erya Oman ku kyeyo era bukya agenda abadde asindikira nnyina ssente miriyoni emu (1,000,000) buli mwezi, okusindika muzukkulu we ku ssomero ssaako n’okulabirira awaka.
Agamba nti yakomyewo nga 18, March, 2020 kyokka yaguddewo ekigwo, omwana okumutegeeza nti yakoma dda okugenda ku ssomero olwa jjajjaawe, obutawaayo wadde 100 ku ssomero.
Mungeri y’emu agamba nti nnyina, yafuna omusajja omulala era yamugulira ne pikipiki ng’abadde amuwa ssente buli mwezi, okuwangaza omukwano gwabwe.
Ku nsonga eyo, addumira Poliisi mu bitundu bye Kabale Brian Ampaire agamba nti maama atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Kabale era okunoonyereza kutandikiddewo mbagirawo.