Olutalo wakati wa Faridah Nakazibwe ne Justine Nameere lukyalanda, ekintu ekiweebuula ekitiibwa kyabwe.
Nakazibwe ne Nameere bombi bawala balungi era abeegombebwa, bakozi ba ku ttivvi era bombi bafumbo, Nakazibwe akola ku NTV ne Justine Nameere eyakolako ku tivvi y’emu n’adda ku Bukedde n’avaayo nadda ku Salt gye yava oluvanyuma.
Wabula Nameere alambuludde ezimu ku nsonga lwaki alina obutakaanya wakati we ne Nakazibwe mu kiseera kino.

Nameere agamba nti, “Faridah Nakazibwe yavaayo ku mukutu ogwe ogwa Face Book nabuulira ensi y’abantu nti nze mpereza bbaawe (Omar Ssali) ‘message’ ezimukwana, ezonoona erinnya lye nti nze mukyala Kigongo omukulu mukyala Olive nti yampa ssente mpitirivu muteekeko abantu abamugoberera nti baagala kumuyiira asidi“.

Ebigambo bya Nameere biraga nti Nakazibwe yamulumba nga talina bukakafu era y’emu ku nsonga lwaki yamuteeka ku nninga okumwetondera mu lujjudde.
Olutalo lwa bano baalutandikira ku Facebook, Nakazibwe bwe yateekako ekiwandiiko ng’agamba nti akooye Nameere okumusojjanga ng’aweereza bba Omar Ssali obubaka obumuggya ku mulamwa gw’obufumbo bwabwe.
Nakazibwe alumiriza Nameere okukozesa amannya agatali gage (Jojo Bella) ku Facebook n’aweereza bba obubaka obumwonoona n’ekigendererwa eky’okutta obufumbo bwe.

Era ekimu ku biwandiiko kyalimu amannya g’abasajja abagambibwa nti baganzi ba Nakazibwe. Nameere mu kwewozaako agamba nti ebigambo bya Nakazibwe kalebule yennyini era y’emu ku nsonga lwaki alina okwetonda.
Eddoboozi lya Nameere ng’ali ku NBS TV