Poliisi etubuulidde wetuuse mu kunoonyereza ku mukyala eyakwattiddwa ku misango gy’okutta mutabani we mu Tawuni Kanso y’e Myanzi mu disitulikiti y’e Kassanda.

Maama Namutebi Rweza myaka 27 yakwattiddwa ku misango gy’okutta omwana we Waswa John myaka 9.

Namutebi yakubye mutabani we ejjinja ku mutwe eryamuwunzizza oluvanyuma yakutte akambe namusala olubuto okugyayo ebyenda.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Namutebi olw’amazze okutta mutabani we, yasaangiddwa ng’omulambo aguziise nga guteekeddwa mu kiveera.

Enanga mu kwogerako eri bannamawulire ku Media centre mu Kampala enkya ya leero, agambye nti okunoonyereza kulaga nti Namutebi mulwadde wa Mutwe era abasawo balina okumwekebejja.