Abaana b’omubaka w’e Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine bafunye essannyu olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna olwa kitaabwe okudda okuva mu ggwanga erya America gye yali yageenda okufuna obujanjabi.

Bobi Wine yawerekeddwa Poliisi okuva ku kisaawe Entebbe okutukira ddala makaage e Magere ng’alindiriddwa namungi w’omuntu.

Awaka, abaana bafunye ku ssannyu olwa kitaabwe okudda n’omukyala Barbie Kyagulanyi era Bobi Wine yayozeeza ku munye olw’essannyu okuva eri famire ye.