Omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White awakanyiza ebyogerwa nti okutandiika okuyamba abantu, yakikola okunafuya omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).

Bryan White agamba nti buli muntu yenna waddembe okuvaayo okuyamba eggwanga mu byenkulakulana n’okuyamba abantu okukyusa embeera zabwe.

Bobi Wine ne Bryan White
Bobi Wine ne Bryan White

Mungeri y’emu agambye nti tewali muntu omu yekka asobola kukyusa ggwanga lino Uganda ne Bobi Wine tasobola nga kyetagisa buli muntu okuyambako.

Omugagga Bryan era akaatiriza nti Bobi Wine mukwano gwe nnyo kyoka okulemererwa okusomesa abantu okwewala okunywa ebiragalaragala omuli enjaga y’emu ku nsonga lwaki tebakwatagana.

Bw’abadde awayamu naffe, Bryan White agambye nti Bobi Wine alina abagoberezi bangi nnyo ng’asobola bulungi okweyambisa eddoobozi lye okukyusa eggwanga n’okusingira ddala abavubuka.