Poliisi ekutte abantu 16, abateeberezebwa okwenyigira mu kubba emmotoka ne bodaboda mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Okusinzira ku Poliisi, mu kikwekweeto kyabwe, bazudde emmotoka 20 ne bodaboda bbiri (2) mu bitundu okuli Kampala, Luweero, Iganga, Mbale, n’ebintu ebirala.

Vicent Ssekate
Vicent Ssekate

Omwogezi w’ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango Vicent Ssekate, agambye nti emmotoka ezibibwa, zitwalibwa mu Mbale, Busia ne mu ggwanga erya Kenya.

Mungeri y’emu agambye nti emmotoza ze basinga okubba mulimu Harrier, Premio, Wish, Noah n’endala kuba zirina akatale mu ggwanga lyona.