Mu nsi y’omukwano, abakyala balina okuvumbula ebintu eby’enjawulo okusobola okuwa omusajja essanyu mu nsonga z’omu kisenge.
Olunnaku olwaleero, Ssenga Kawomera alambuludde omugaso gw’okwambala obutiiti mu kiwato nga muli mu kisenge era abawala n’abakyala.
Ssenga Kawomera agamba nti obutiiti buyamba nnyo mu ngeri y’okutandikamu omukyala oba okumunoonya. Ssinga omukyala abeera mu tulo omwami n’asisimuka ng’ayagala okunyumya akaboozi, obutiiti bw’atandikirako mpolampola, okusindikira omukyala sigino.

Mungeri y’emu agambye nti obutiiti bunyuma okutunulako ng’omukyala abusibye mu kiwato era buleeta obwagazi mu basajja n’okunyumiza akaboozi kuba bulina engeri gye bukola amaloboozi nga muli mu kikolwa.

Ssenga Kawomera era agamba nti omukyala yenna alina okufuba okulaba ng’atereka butiribiri obutiiti buno. Tebusaanye kubeera buli muntu ayingidde ekisenge kyo w’abulabira era n’omusajja tasaana kubulabako nga tobwambadde kuba obwagazi buyinza okukendera.

Abasajja abamu balowooza obutiiti bwa kikadde naye Ssenga agamba nti tebaba babuulirire era y’ensonga lwaki ennaku zino tebamanyi nsonga za mukwano.