Minisita Lokodo akooye abakyala okumusaaliza ne vuvuzera, mbu afunye omukyala okumuyigiriza enyumya y’akaboozi

Agava mu nkuubo ku Palamenti galaga nti Minisita avunaanyizibwa ku kukwasisa empisa, Rev. Fr. Simon Lokodo essaawa yonna agenda kuwasa omukyala.

Okusinzira ku babaka ba Palamenti abatagadde kwatukiriza mannya gaabwe, amawulire bagawulira nti Minisita Lokodo alina omukyala gw’ayogereza era essaawa yonna, ayinza okumwanjula mu bazadde.

Mungeri y’emu bagambye nti Minisita Lokodo bamuwa ekitiibwa era bamulinze okubategeeza mu butongole.

Waliwo omubaka omukyala naye agaanye okwatukirizza amanya ge agambye nti bawulira mu nkuubo nti enkiiko z’okwanjula zigenda mu maaso kyokka Minisita Lokodo tanaba kubategeezaako.