Abantu bataano (5) battiddwa ku nnyanja Albert ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero ku Lwokusatu ku kizinga Kaiso mu ggoombolola y’e Tonya mu disitulikiti y’e Hoima.

Abatuuze balumiriza abatujju bakabinja “Lendu” okuva mu ggwanga erya Congo okulumbagana bannabwe ku mazzi ekiro nga bakutte emmundu, amajjambiya, amafumu, obusaale n’ebisi ebirala.

Abattiddwa bategerekeseko erinnya limu okuli Patrick, Moses, Eric, Jakwonga ne Olivier era emirambo gyabwe gyatemeddwa ne gisuulibwa mu mazzi, ekirungi abatuuze babiri (2) basimatuuse n’ebiwundu.

Omu ku batuuze John Kato akukulumidde nnyo ebitongole ebikuuma eddembe okulemwa okukuuma bannansi ate nga baludde nga basaba ebyokwerinda.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine, Julius Hakiza akaatiriza nti ettemu lyakoleddwa era batandiise okunoonyereza n’okulinda Poliisi ya balubbira n’okunoonya emirambo gy’abatuuze, egyasuuliddwa mu mazzi.