Omuyimbi DJ, Michael afunye omukisa okusisinkana Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni mu kivvulu kya Catherine Kusasira ku Serena, okumutegeeza ku nsonga ze.
DJ, Michael ali mu bizibu oluvanyuma lwa konsati ye eyali ku Freedom City nga 23, August, 2019 okumusala era mu kiseera kino ali mu mabanja.


Ku Lwokutaano, yafunye omukisa okukuba Pulezidenti Museveni akaama ku nsonga ze era abamu ku badigize bawuliddwako nga bagambga nti, “Mzei nnyamba naye ndi mu mbeera embi, konsati abantu tebajja ndi mu mabanja, taata nnyamba“.

DJ, Michael yabadde anywezeza engalo za Pulezidenti Museveni kuba yabadde afunye omukisa okweyogerako, okufuna ebbaasa okugonjola ebizibu bye.
Kigambibwa DJ, Michael okuwagira NRM era y’emu ku nsonga lwaki abantu tebaagenda mu kivvulu kye.
Mu Uganda, abayimbi okuli Kusasira ne Bebe Cool bebasiinga okuwangira Pulezidenti Museveni.