Entekateeka ziri mu giya nene mu maka awagenda okubeera okwanjula kwa Rema Namakula nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka.

Rema agenda kwanjula bba Dr. Hamza Ssebunya mu bazadde oluvanyuma lw’okusuulawo muyimbi munne Eddy Kenzo.

Omukolo gwa Rema kutegekeddwa mu maka ga Francisco Ssemwanga era kigambibwa mukyala wa Ssemwanga ye maama wa Rema.

Mu kiseera kino okuyooyoota amaka kugenda mu maaso omuli okusiika langi, okulongoosa amakubo, okusaawa kompawundi y’ennyumba, okuyoola kasasiro.

Awaka ebyokwerinda biri gulugulu era ebigenda mu maaso biraga nti tewali muntu yenna ayinza kuyimiriza mukolo gwa Rema ne bba Dr. Hamza.

Ekifaananyi kya Bukedde


READ  John Blaq Secures Massive Deal Worth Millions Of Cash To Perform In Amsterdam