Abasuubuzi b’omu Kampala basabye gavumenti ereeteyo etteeka eritangira obwediimo bwonna obuleetebwa mu kibuga kubanga bafiirwa buli lwewabeerawo akakyankalano mu kibuga.
Abasuubuzi bawadde Minisita wa Kampala, Beti Olive Namisango Kamya ekiwandiiko kyabwe nga basaba Minisita abasalire amagezi.
Mu kiwandiiko, bagamba nti bakooye bannabyabufuzi okubalemesa okunoonya ssente nga bekalakaasa ku buli nsonga yonna ekigotaanya emirimu gyabwe.
Mungeri y’emu basabye Minisita Kamya okutwala ebirowoozo byabwe mu Kabinenti okusobola okubaletera etteeka eritangira obwediimo bwonna mu Kampala.
Ssentebe wa badereeva mu kibiina kya KOTSA, Yasin Ssematimba agamba nti okwekalakasa kulemesa abali mulimu gwa Takisi okunoonya ssente, ekikuumidde abantu mu mbeera embi.
Minisita Kamya mu kwogerako eri abasuubuzi, asuubiza okutwala ensonga zabwe mu bakulu okusobola okolebwako.
Mungeri y’emu akubiriza abantu okwetanira okuteesa ku buli nsonga yonna okusinga okwediima.