Omuyimbi Recho Rey ennaku zino engoye zimusiiwa era y’emu ku nsonga lwaki asukkiridde okusabbalaza abasajja olw’enyambala ye.

Mu Uganda, Recho Rey y’omu ku bawala abato abeegulidde erinnya mu kukuba omuziki ennaku zino olw’ennyimba ze omuli Guma Bakunyige, Bwogana, Olimba, Who is she n’endala era alina abawagizi bangi nnyo n’okusingira ddala abavubuka.

Okusinzira ku mukutu gwe ogwa Instagram, Recho Rey agamba nti alina okwambala mu ngeri eggyayo obulungi ekifaananyi kya Africa, “When they ask you what Africa looks like … show them this picture“.

Wabula abamu ku mikwano gye ku mitimbagano egy’enjawulo n’okusingira ddala ogwa Face Book bagamba nti Recho Rey muwala muyonjo nnyo kuba ategeera okuyoyoota vuvuzera era avuganya bulungi nnyo mwana muwala Martha Kay.