Abasajja 4 abaakwatibwa ku misango gy’okutta aba Agent ba Mobile Money, Zanna ku luguudo lwe Ntebbe, emisango gibasinze mu maaso g’abalamuzi musanvu (7) mu kkooti y’amaggye e Makindye ng’ekulembeddwamu Lt. General Andrew Gutti.
Abattibwa kuliko Harriet Nalwadda ne Moreen Nakabuubi nga baakubwa amasasi, abatemu abaali ku bodaboda nga 10, Ogwomukaaga, 2019 oluvanyuma ne batwala ssente obukadde 6 n’emitwalo 80 (6,800,0000).
Oluvanyuma, ebitongole ebikuuma ddembe byakwata abantu 4 okuli Bob Anichan eyadduka mu magye ga UPDF, Dennis Mangusho nga naye yaliko munnamaggye, Stanley Mulunda amanyikiddwa nga Jumba Frank nga mutuuze Masanafu ssaako ne Issa Ntale amanyikiddwa nga Ganja ng’avuga bodaboda.
Mu kkooti, oludda oluwaabi lwaleeta abajjulizi 16 omuli abasirikale ssaako n’abamu ku bakyala babavunaanibwa.
Enkya ya leero, ssentebbe Lt. General Gutti agambye nti obujjulizi bwonna obwaletebwa mu kkooti, bulaga nti abantu bonna 4 abakwate balina akakwate mu by’okutta Nalwadda ne Nakabuubi n’okutwala ssente zonna.
Obujjulizi kuliko ensawo ya ssente eyazuulibwa mu maka ga Ntale Issa ng’eriko omusaayi era okunoonyereza kulaga nti, gwali tewali njawulo n’ogwa Nalwadda.
Kkooti eyongezaayo okutuusa ku ssaawa 8 olunnaku olwaleero, okuwa abavunaanibwa ebibonerezo ku misango gy’okutta n’okubba.