Poliisi mu Kampala esindise basajja baayo okunoonyereza ku batemu abasse omukyala mu disitulikiti y’e Wakiso obudde nga busasaana enkya ya leero.

Omukyala Yafesi Nagara abadde mutuuze ku kyalo Masajja-Kibera mu Monisipaali ya Makindye Ssabagabo, akubiddwa amasasi, abatemu abali ku bodaboda.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, omukyala Nagara abadde yakasenga mu kitundu ekyo, era abadde yegulidde erinnya mu kutunda chipusi, muwogo ne ovakeddo.

Onyango agamba nti bagenda kweyambisa kkamera z’omu kitundu, okubayambako okunoonya abatemu, abenyigidde mu kutta omukyala (Nagara).

Onyango era agambye nti okunoonyereza kulaga nti abatemu, basobodde okuyita Nagara okuva mu nju era bayogedde okumala eddakika  eziwerako kyokka oluvanyuma baamukubye amasasi agaamutiddewo.

Ate abatuuze abagaanye okwatuukiriza amannya gaabwe, bagambye nti abatemu, tebalina kintu kyonna kyebatutte, ekiraga nti okutta Nagara bazze bakigenderedde.