Omukyala Zari Hassan alaze ensi lwaki mukyala wanjawulo nnyo ku bakyala abalala bonna wadde bangi abamusinga obulungi ne ssente.
Zari mukyala muzadde, Munnayuganda, alina abaana bataano (5), beyazaala mu basajja babiri (2) okuli omugenzi Ivan Semwanga n’omuyimbi omutanzaniya Diamond Platnumz era agamba nti alina emyaka 39.

Mu kiseera kino, talina musajja amanyikiddwa kyokka bangi ku mikwano gye bagamba nti omusajja omu ku bagagga mu ggwanga erya South Africa.
Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga lwaki mukyala wanjawulo nnyo ku bakyala abalala era agambye nti talina kukola ebintu buli muntu by’akola,”i don’t have to do what everyone else is doing“.
Ebigambo bye, biraga nti eyali bba Diamond Platnumz yalemwa okumutegeera ekyavaako okwawukana kuba yali alowooza nti Zari alina okukola ebintu ng’abakyala abalala.