Kyaddaki omubaka wa Palamenti y’obuvanjuba bwa Afrika Mukasa Mbidde abikudde ebyama, ayogedde emyaka gya mukyala we Fiona wadde bangi ku bannayuganda babadde bagamba nti yawasiza muwala muto nnyo.
Mbidde alina emyaka 45 era sabiti ewedde, bamwanjudde mu bazadde b’omuwala mu ggwanga erya Rwanda.

Agamba nti, “omwana ono Fiona si muto nnyo ng’abamulaba bwe balowooza kubanga alina emyaka 23“.

Mungeri y’emu agambye nti ye musajja mukulu era okuwasa omukyala yenna alina okwetegereza nnyo era y’emu ku nsonga lwaki mukyala we Susan Namaganda eyali omubaka omukyala owa Bukomansimbi, bwe yafiira mu kabenje mu 2015, aba famire baali bamwagaliza kuwasa muto we Veronica Nannyondo.