Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Steven Mubiru aliko omusajja gwasindise mu nkomyo e Luzira okusibwa emyaka munaana 8 ku misango gy’okubba amassimu abiri (2) nga yeyambisa akambe.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 9, ogwokubiri, 2018 ku ssaawa 10:30 ez’ekiro, Mayanja Douglas amanyikiddwa nga ‘Terrorist’, yalumba amaka ga Ibanda Julius, omutuuze we Kabowa mu Divizoni y’e Rubaga mu disitulikiti y’e Kampala okubba ebintu by’omu nju.

Ibanda agamba nti yatuuka mu ddiro okulemesa omubbi okutwala ebintu bye, Mayanja kwekujjayo akambe okumukanga, essimu nazitwala.

Mu kkooti, Ibanda asabye omulamuzi okusiba Mayanja emyaka 8 kuba okutwala amassimu ge, yagotaanya emirimu gye.

Mayanja akirizza emisango gyonna mu kkooti, omulamuzi kwe kumusalira emyaka 8 kyokka amusaliddeko omwaka ogumu (1) n’emyezi mwenda (9) gy’akulungudde ku Limanda nasigazaawo emyaka 6 n’emyezi 3.