Kyaddaki bbanka ya Centenary efundikidde akazannya kaayo aka CenteChristmas akakulungudde emyezi ebiri (2) okuva omwezi gwa November, okutuusa olunnaku olwaleero nga 30, December, 2019.

Mu Kampeyini eno, Kasitoma yenna okuwangula abadde alina okweyambisa enkola za bbanka omuli CenteMobile, CenteVisa ne CenteAgent okusindika n’okuggyayo ssente wakiri emirundi esatu (3) buli wiiki.

Mu kufundikira Kampeyini eno, abawanguzi omuli Peterson Ssempijja, Fred Mugamba ne Tom Mukooli bakedde kwewangulira birabo ku Capital Shoppers, Nakawa.

Bonna 3 bakwasiddwa obugaali bwa supermarket (Trolley Dash) buli omu okulonda ebintu byeyetaaga mu Sekondi 50 zokka era balonze ebintu omuli sukkali, Omuceere, Blue Band, Ssooda, Buto n’ebintu ebirala.

Omu ku bawanguzi Ssempijja okuva e Kawempe asiimye Bbanka ya Centenary okuddiza ku bakasitoma baayo n’okutekawo embeera okubanguyiza okusindika n’okuggyayo ssente zaabwe mu bbanka era nebaza ne Katonda ku kino ntuseeko, “nina akawunti mu Centenary Bank era esobodde okunyamba okuwangula ebirabo bino, mbadde nkozesa Cente Agent Banking nebaza Centenary olwa bino byenfunye era kabonero akalaga nti batulowozaako nga bakasitoma baabwe“.

Ate akulira obwa kitunzi mu Bbanka ya centenary Ngulumi Nabatte Immaculate abikudde ekyama nti mu Kampeyini eno, basobodde okudiza  bakasitoma abasukka mu 500 mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era akubirizza abantu okweyongera okuwagira Centenary Bbanka n’okweyambisa enkola zaabwe.

Mungeri y’emu agambye nti Kampeyini eno, ebadde egendereddwamu okumanyisa abantu ku nkola zaabwe kibanguyize mu kutambuza emirimu gyabwe.