Kyaddaki omuyimbi Yvonne Chaka Chaka okuva mu ggwanga erya South Africa ayogedde amazima lwaki adduuse mu Uganda wadde abadde alina okuyimba mu kivvulu kye Nkuuka mu Lubiri e Mmengo.
Chaka Chaka yatuuse mu Uganda, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo era abadde alindiriddwa akawungeezi ka leero, okukyamula Maaso Moogi Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II mu kivvulu, ekigenda mu maaso mu Lubiri.
Wabula okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Chaka Chaka n’abategesi balemeddwa okufuna ebiwandiiko ebituufu, ebiraga nti alina okuyimba mu Uganda.
Enanga agamba nti Viza ya Chaka Chaka eraga nti yabadde aze kukyala bukyazi wabula ssi kwenyigira mulimu gwonna okuvaamu ssente omuli n’okuyimba.
Mu Uganda, Chaka Chaka yaleteddwa Abbey Musinguzi amanyikiddwa nga Abitex.
Wabula Chaka Chaka asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okwogera amazima lwaki agobeddwa mu Uganda mu bwangu.
Agamba nti takwatiddwa era tagobeddwa mu Uganda, buli kimu kiri mu mbeera nungi ddala era agumizza famire ye ne mikwano gye,”Iam well, have not been arested, have not been deported“.
Chaka Chaka agamba nti ekimugaanye okuyimba mu nkuuka, abadde abuuzibwa ebintu eby’enjawulo by’alina okwanukula nga talina ansa zaabwe ng’ekisigalidde kuva mu ggwanga.