Bya Nalule Aminah
Poliisi y’e Mpigi etandiise okunoonyereza ku muwala eyakwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana omulenzi myaka 8.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, omuwala akwattiddwa ategerekeseeko erya Nakato myaka 18.
Enanga agamba nti abazadde baludde nga balekera Nakato omwana okumulabirira, okutuusa omwaka oguwedde ogwa 2019 omwezi ogwe kkumi, Nakato bwe yasobeza ku mwana gw’aludde ng’akuuma ali mu ‘Top Class’.
Poliisi egamba nti Nakato yasindika omwana mu kisenge kye okumutwalira engoye ze, kwe kumulumbayo okumusobyako.
Enanga agamba nti Nakato abadde ayingibwa okutuusa lwe yakwattiddwa era mu kiseera kino ali mu mikono gyabwe.
Mungeri y’emu alabudde abazadde okuba abegendereza ku bantu abakuuma abaana baabwe mu kiseera nga bali ku mirimu.