Kkooti y’amaggye e Makindye egyeeko emisango gyonna abantu musanvu (7) abaali bakwatibwa nga bannansi ba Rwanda.
Abejjeerezeddwa kuliko Rene Rutagungira, Bahati Mugenga, Emmanuel Rwamuco, Augustine Rutisiri, Etiene Nsanzabahizi , Charles Byaruhanga ne Claude Iyakaleme nga baakwatibwa mu March wa 2018 ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka.
Enkya ya leero, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Lt Col Raphael Mugisha lutegezeza abalamuzi ba kkooti eyo nga bakulembeddwamu Lt General Andrew Gutti nti omusango, tebakyagwetaaga.
Lt Col Mugisha era agambye nti bonna 7 okubagyako emisango, tekitegeeza nti tebasobola kuddamu kugikomyawo.
Kkooti ekirizza okusaba kw’oludda oluwaabi era bonna 7 bayimbuddwa.
Oluvudde mu kkooti, munnamateeka wa bannansi ba Rwanda Eron Kiiza, asiimye eky’okuyimbula abantu be kyokka naasaba abantu be okusasulwa olwe bbanga lye bakulungudde ku limanda, ekigotanyiza emirimu gyabwe.
Banno okuyimbulwa nga Uganda ne ggwanga erya Rwanda wakyaliwo okusika omuguwa nga n’ensalo tezinaba kuggulwa bulungi, okusobozesa bannansi okuva mu nsi zombi, okutambuza obulungi emirimu gyabwe.