Kyaddaki omuyimbi Rema Namakula ayogedde omulimu gwa bba Dr. Hamzah Ssebunya mu bulamu bwe.
Rema yayanjula bba Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka nga 14, November, 2019 oluvanyuma lw’okwawukana ne bba Eddy Kenzo gwe yazaalira omwana omu yekka.

Rema bw’abadde awayamu n’omusasi waffe ku nsonga ya Konsati ye olunnaku olwaleero ku Hotel Africana agambye nti, “Dr. Hamzah tasobola kuyimba, ye asobola kunkuba mpiso“.

Rema abadde omusanyufu nnyo, alaze nti ye ne Hazmah bali mu mbeera nungi nnyo nga n’okugamba nti amukuba empiso, alaze nti ali mu laavu nnyo.

Ebigambo bya Rema, alaze nti Kenzo yalemwa okumukuba obulungi empiso mu myaka 5 wadde yamuzaalira omwana era y’emu ku nsonga lwaki yamusuulawo okufuna omusajja omulala Dr. Hamzah ategeera obulungi okukuba empiso.


READ  LABA SSENTE! Dr Hamzah agulidde kabite we Rema kapyata y'emmotoka ng'ekirabo okumwanjula mu bazadde, alangiridde ye ssaawa okwawula abalenzi ku basajja