Wadde Omuyimbi Rema Namakula ayinza okuba musanyufu nnyo mu bufumbo bwe, abamu ku bawagizi be balina ebibuuzo bingi nnyo nga betaaga okudibwamu.
Omwaka 2019, mu butongole, Rema yayanjula bba Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka nga 14, November ku mukolo ogwali ogw’ebyafaayo.

Okwanjula kwa Rema ne Dr Hamzah mu 2019

Mu ngeri y’emu mu mwaka 2019, omuyimbi Eddy Kenzo yafuna okusoomozebwa okwenjawulo omuli n’okulowooza okwetta oluvanyuma lwa mukyala we Maama Aamal ‘Rema’ okumusuulawo olwa Dr. Ssebunya era bambi obulamu tebwali bwangu.

Eddy Kenzo yali asobeddwa

Kenzo mu ngeri y’okulaga nti yali anyoleddwa nnyo, yafulumya oluyimba ‘Bibaawo’ era mu luyimba agamba nti, “Ye maama Nze atalina maanyi galwana, Sirwane, nze sirina makosa, Kye mwayagaliza embazzi kibuyaga asudde, Kye mwayagala obwedda ye ssaawa mulindwa, Mukwate bulungi kye nsaba, Oyo muntu wange, Temunziriza nga biwompogoma, Ebikoonagana ng’ebye Naggalam“.

Oluvanyuma lwa Rema okufuna omusajja, yafulumya oluyimba ‘Ekyama’ nga lwa mukwano era mu luyimba agamba nti, “Omukwano mujoozi k’okole otya togwewala
Gwankwasa lumu ng’enjoka bwe zeeyisa
Nz’eyali yeemanyi mu laavu ssigonzebwa, ha
Mpolampola omutima nga gubbibwa
Bwe nakuuma ebyama
Ne bifuuka ebyama
Laavu ojooga
Laba bw’onkuba engwala (ayi)
Baŋamba kawoowo
Mukwano k’okole otya!
Nga nsibye evvumbe
Guvuddeyo ne byeyasa
Ebyali eby’ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Biri bye twakeeka
Ekyama, twasizza ekyama
By’ebifuuse ensonga
Ekyama, twasizza ekyama
Ebyali eby’ekyama aah
Ekyama, twasizza ekyama
Twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama

Rema, Kenzo Named Among The Latest List Of Top 100 African Musicians

Wadde Rema alaga nti ali mu laavu, okuva omwaka 2020 mu March, ebigambo bizze biyitingana nti yafunye olubuto lwa Dr. Ssebunya wabula n’okutuusa olunnaku olwaleero, ebifaananyi bye byonna biraga nti tali lubuto.

Kituufu Rema tali lubuto

Asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okuteekayo ekifaananyi era kyongedde okukakasa nti ddala tali lubuto naye akyalinda Dr. Ssebunya okunoonya amaanyi agayinza okumutikka olubuto.

Abamu ku bawagizi be, bakyebuuza lwaki ddala omuntu waabwe akyalemeddwa okuzza ku muwala wa Kenzo Aamal ate nga omusajja alina omulala.
Rema okulemwa okufuna obuluto, kabonero akalaga nti eyali bba Kenzo yali musajja nnyo mu nsonga z’omu kisenge kuba Dr. Ssebunya akyalemeddwa okulaga nti ddala naye musajja era yetaaga omwana.