Abantu 60 bakwattiddwa mu kikwekweeto ekikoleddwa Poliisi n’amaggye mu disitulikiti y’e Kampala ne Wakiso era basangiddwa n’ebintu ebiteeberezebwa okuba ebibbe.

Abakwattiddwa bagiddwa mu Kisenyi- Mengo, ewa Kisekka, Kireka ne Kakajjo-Bweyogerere.

2 ku bakwate basangiddwa n’ebyambalo by’amaggye omuli obusaati, essasi limu (1), amassimu agateeberezebwa okuba amabbe, laptop ez’ebika eby’enjawulo, ensawo z’abakyala ssaako n’ebintu eby’enjawulo ebyeyambisibwa okumenya n’okubba abatuuze omuli ejjambiya, embazzi, emisumaali, ennyondo.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti ekikweekweeto kikoleddwa oluvanyuma lw’abatuuze okwemulugunya ku bubbi obusukkiridde mu kitundu kyabwe.