Kkooti ensukkulumu kyaddaki eyanukudde eyavuganyako ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2021 Willy Mayambala ku nsonga z’okutwala omusango gwa Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) oguli mu kkooti mwawakanyiza obuwanguzi bwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Kyagulanyi yaggyeyo omusango mu kkooti era yagambye nti kkooti eremeddwa okulaga nti yetengeredde, yalemeseddwa okutwala obujjulizi mu kkooti ate ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo alaga nti azinira ku ntoli za Pulezidenti Museveni wabula etteeka liwa omuntu omulala obuyinza okugwediza singa abeera omu kw’abo abavuganyako ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga mu kalulu akakasembayo.

Mayambala yawandikidde kkooti okusaba okuwabulwa kuba agamba nti yetaaga okwediza omusango bw’aba Kyagulanyi agamba nti tagwetaaga ayagala kuveeyo mu kkooti.

Okusaba kwa Mayambala mu kkooti ensukkulumu

Wabula omuwandiisi wa kkooti ensukkulumu, Harriet Lukwago Ssali azzeemu okusaba kwa Mayambala kweyakoze ng’asaba akkirizibwe okweddiza omusango gwa Kyagulanyi. Lukwago amuwadde amagezi anoonye munnamateeka amuyambe ku ngeri gyasobola  okutwala omusango guno.

Related Stories
Supreme Court; Justices Rule Out Costs For Bobi wine

Justices Rule Out Costs It is a sigh of relief for the former Presidential Candidate Read more

Bobi Wine Arrested Like Chicken Thief While Protesting

Bobi Wine Arrested Like Chicken Thief There was drama and chaos in Kampala on Monday Read more

Okudibwamu kwa kkooti ensukkulumu

Wadde Mayambala yali omu ku bantu 11 abavuganya ku bwa Pulezidenti, abamu ku bannakibiina ki NUP bagamba nti alina okwesonyiwa omusango gwabwe kuba kirabika waliwo abantu abamukozesa.


READ  Bobi Wine's Right Hand Man Promises To Buy Student Leaders Land Cruiser V8 Each In 2021