Bugembe George asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 42 ku misango gy’okusobya ku baana abato 3.

Bugembe myaka 24 nga mutuuze ku kizinga kye Kasisa mu ggoombolola y’e Bujumba mu disitulikiti y’e Kalangala mu kkooti akkiriza emisango gyonna.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, mu 2018, Bugembe yasobya ku baana 3 okuli abaana babiri myaka 7 n’omwana omu myaka 6 era bonna baasangibwa nga batonya musaayi mu bitundu by’ekyama.

Abavunaaniddwa nga batwalibwa mu kkomera

Mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Victoria Nakintu Katamba, Bugembe asibiddwa emyaka 42 nga buli mwana asibiddwa emyaka 14.

Ku misango 40 egiri mu kuwulirwa mu disitulikiti y’e Kalangala 36 gya kusobya ku baana bato.

Mu kkooti y’emu ssemaka Sserunjoji George William nga mulwadde wa siriimu ne ‘Sickle Cells’ ng’ali mu mbeera mbi, naye asibiddwa omwaka gumu lwa kusobya ku mwana aliko obulemu ali mu gy’obukulu 12.

Sserunjoji ali mu gy’obukulu 60 mu kkooti bamuleese bamukwatiridde era akkiriza okusobya ku mwana ku kyalo Bwendero mu ggoombolola y’e Bujumba mu 2016 era embeera gy’abaddemu, omulamuzi kwasinzidde okumusiba omwaka gumu.