Entiisa n’ekiyongobero bibuutikidde ku kyalo Bugongi mu Monisipaali y’e Kabale, omusajja Twinembabazi John Bosco ali mu gy’obukulu 40 bw’asangiddwa nga yetugidde mu nnyumba.

John Bosco musajja abadde avuga bodaboda ku siteegi ya Highland mu kitundu ekyo era okwetta, yasobodde okweyambisa amasuuka, omulambo gusangiddwa nga gulengejja mu kazigo mwabadde asula.

Twinembabazi John Bosco kati omugenzi
Twinembabazi John Bosco kati omugenzi

Abatuuze nga begatiddwako Poliisi ne Landiloodi baludde nga bebuuza, John Bosco gy’ali kyokka bageenze okumenya oluggi, amaaso gatuukidde ku mulambo.

Abamu ku batuuze abagaanye okwatuukiriza amaanya gaabwe, bagamba nti omugenzi abadde alina mukyala gw’ayagala ali mu gy’obukulu 25 kyokka sabiiti ewedde, yamukutte n’omusajja omulala nga bali kusinda mukwano nga kiteeberezebwa eyinza okuba emu ku nsonga lwaki yesse.

Related Stories
ANTI KALE! Mugume temugenda kufa, abasawo bagumizza abantu ku AstraZeneca wa Covid-19

Mugume temugenda kufa lwa AstraZeneca wa Covid-19 Okutya kweyongedde mu ggwanga Uganda olw'abantu abeyongera okufa Read more

Fire Destroys Condoms, Mosquito Nets At JMS Ware House In Industrial Area

Fire Destroys Condoms A fast spreading fire has on Friday afternoon gutted ware houses on Read more

Elly Maate

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekyavuddeko John Bosco okwetta.