Kkooti ensukkulumu etaddewo ku Lwokuna nga 4, March, 2021, okuwuliriza okusaba kwa Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okuggya omusango mu kkooti ogw’ebyokulonda.

Bobi Wine yali yaddukira mu kkooti ng’awakanya obuwanguzi bwa munna National Resistance Movement (NRM) era ssentebe w’ekibiina Yoweri Kaguta Museveni wabula omusango yasabye, guveeyo mu kkooti sabiiti ewedde.

Ezimu ku nsonga zeyawadde, yagambye nti baamulemeseza okutwala obujjulizi mu kkooti nga ne kkooti esukkiridde okulaga nti teyetengeredde.

Wabula omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Solomon Muyita, agambye nti okusaba kya Bobi Wine okuggya omusango mu kkooti kuteekeddwa mu Kyapa kya Gavumenti ky’oyinza okuyita ‘Gazette’ olunnaku olwaleero era ku Lwokuna nga 4, March, 2021, kkooti lw’egenda okuwuliriza okusaba kwe.

Muyita agamba nti ku Lwokuna bannamateeka ku njuyi zonna bakutuula mu kuwuliriza okusaba kwa Bobi Wine era abalamuzi 9 nga bakulembeddwamu Ssaabalamuzi wa Uganda, Alfonse Owiny Dollo beetegese bulungi okuwuliriza okusaba kwabwe.

Ku Lwokuna, singa kkooti ekkirizza Bobi Wine okuggya omusango mu kkooti, kitegeeza essuubi lya Bobi Wine okutuula mu ntebe y’obwa Pulezidenti mu 2021 liba liweddewo, alina kulinda 2026 addemu agezeeko.