Bizzeemu mu Uganda oba! wuuno omukyala akubiddwa amasasi e Mityana, ssente zonna zitwaliddwa

Poliisi e Mityana eri mu kunoonyereza ku by’okubba n’okutta Kyerani Stanley Jurnior abadde amanyikiddwa nga Maria rose.
Kyerani abadde mutuuze ku kyalo Busunju B mu Tawuni Kanso y’e Busunju mu disitulikiti y’e Mityana era yattiddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga nga 6, March, 2021.
Kigambibwa abasajja babiri (2) nga bali mu ngoye ezabuligyo nga bakutte emmundu ekika kya Ak-47 n’okwambala masiki bayingidde mu nnyumba ya Namale Annet eyabadde ku TV ne Nakibule Justine, Kyerani (omugenzi).

Abatemu battiddewo Kyerani ne batwala ensawo ya Kompyuta ekika kya laptop, ssente shs 35000 n’essimu.
Amangu ddala Poliisi yatuuse mu kifo era yasobodde okuzuula ebisosonkole by’amasasi bisatu (3) n’essasi limu (2) era bitwaliddwa okwekebejjebwa.
ASP Rachel Kawala, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala agamba nti Poliisi tennakwata muntu yenna wabula okunoonyereza kutandikiddewo mbagirawo.

Ate Poliisi y’e Bukinda eri mu kunoonyereza okuzuula engeri omutuuze Alfonse Hatimana myaka 41 gye yattiddwamu.
Hatimana abadde mutuuze ku kyalo Kitahaza mu ggoombolola y’e Mweruka.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga nga 6, March, 2021, Hilda Kwesiga myaka 52 omutuuze mu Katawuni k’e Bukinda mu disitulikiti y’e Bukinda yabadde akedde kulima, kwe kuwulira ekivundu era amangu ddala kwe kulaba omulambo gwa Hatimana mu mwala.

Amangu ddala yalopye omusango gw’okutta omuntu ku Poliisi y’e Bukinda.
Poliisi yasobodde okwekebejja ekifo era omulambo gwasangiddwa nga gutandiise okuvunda.
Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi agamba nti omulambo gukyali mu ggwanika ly’eddwaaliro e Kabale okwekebejjebwa.
Mungeri y’emu agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku ngeri Hatimana gye yafuddemu.

Kigambibwa Hatimana abadde Munyarwanda era Poliisi mu kwekebejja omulambo, musangiddwamu ennamba z’essimu, zesobodde okweyambisa okutegeeza aba famire nti omuntu waabwe yattiddwa.

Wabula abamu wakati mu kulukusa ku maziga bagamba nti ebikolwa by’ettemu byeyongedde mu kitundu kyabwe era basabye ekitongole kya Poliisi okwongera amaanyi mu byokwerinda n’okulawuna mu budde bw’ekiro.
Abatuuze era bagamba nti n’obubbi bweyongedde n’okusingira ddala mu ssaawa za Kafyu ng’ababbi batwala ebintu eby’enjawulo ebisolo omuli embuzzi, embizzi ssaako n’emmere omuli amatooke.