Ssemaka abadde alowooza nti musajja nnyo mu kaboozi bagimuwadde n’emutama

Kyaddaki Poliisi e Iganga ekutte abakyala mwenda (9) abasamba ogw’ensimbi ku misango gy’okwenyigira mu kutta omusajja Moses Obita myaka 40 mu Monicipaali y’e Iganga.

Obita, nga mutuuze w’e Kasolo mu ggoombolola y’e Bulamagi mu disitulikiti y’e Iganga attiddwa mu kiro, ekikeseza olwaleero ku Shooter’s pub e Iganga.

Kigambibwa Obita, attiddwa abakyala bano abasamba ogw’ensimbi oluvanyuma olw’okusinda omukwano.

Omu ku bakozi agaanye okwatuukiriza amannya ge, agambye nti akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Obita kati omugenzi yabadde n’abakyala 6 abasamba ogw’ensimbi nga bali mu kunywa mwenge, nga bwe yeepika nga bw’ali omusajja omuzibu mu nsonga z’omu kisenge.

Related Stories
Prince Philip dead: Queen’s husband has died – Here Is his net worth

What is Prince Philip's net worth? Prince Philip had a net worth of £30million ( Read more

ANTI KALE! Mugume temugenda kufa, abasawo bagumizza abantu ku AstraZeneca wa Covid-19

Mugume temugenda kufa lwa AstraZeneca wa Covid-19 Okutya kweyongedde mu ggwanga Uganda olw'abantu abeyongera okufa Read more

Omukozi agamba nti kiteeberezebwa nti omusajja okulemwa okusasula abakyala bonna oluvanyuma lw’abakoozi nga bagimuwadde y’emu ku nsonga lwaki bekobaanye ne basalawo okumutta.

Mungeri y’emu agambye nti wadde batya okutegeeza ku Poliisi, ebbaala yaabwe okulwana kweyongedde ng’abakyala abalenga omukwano begumbulidde okulwana n’abasajja, wakati mu kubanja ensimbi zaabwe ez’okwerigomba.

Wabula adduumira Poliisi e Busoga East Anatolli Katungwesi agambye nti malaaya omukulu agambibwa akulembera okutta Obita aliira ku nsiko mu kiseera kino wabula abakwattiddwa, bagenda kubayambako mu kunoonyereza.

Poliisi egamba nti alipoota y’abasawo ku ddwaaliro ekkulu e Iganga eraga nti Obita yafudde olw’omusaayi omungi, ogwamuvuddemu nga yafumitiddwa ku kifuba ne mu kyenyi era omulambo gukwasiddwa aba famire okuziikibwa.

Ate entiisa ebuutikidde ku kyalo Namokora mu disitulikiti y’e Kitgum, omusajja bw’asse omwana we myezi ebbiri (2) wakati mu kulwanagana n’eyali mukyala we Vicky Akanyo.

Raymond Akena yakwattiddwa ku misango gy’okutta omwana omulenzi.

Omukyala yanobye omwezi oguwedde ogwa Febwali, nga kivudde ku butakaanya ne bba kyokka omusajja abadde agenze kwetonda, ng’emu ku nsonga gy’akulembeza, okusubwa mukyala we mu nsonga z’okwerigomba.

Wabula omukyala yagaanye okumudiramu, ekyavuddeko okulwanagana era wakati mu kwesika amataayi, omusajja yakubye omwana omutwe ku ttaka, era amangu ddala omwana yafiiriddewo.

Wabula abatuuze bekozeemu omulimu okwagala okutta omusajja, Poliisi nemutaasa.

Mu kiseera kino, omusajja Akena ali ku Poliisi y’e Namokora ku misango gy’okutta omuntu.