Poliisi ezudde ebikwata abantu 6 kwabo 10 abafiiridde mu kabenje, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, oluvanyuma lwa bbaasi okuva mu kampuni ya YY namba UAX 852F okuyingirira takisi namba UAV 689E.

Akabenje kabadde mu katawuni k’e Bukonte ku luguudo oluva  Iganga-Tirinyi-Mbale era abantu 10 bebafudde nga 9 bafiiriddewo ate omulala afiiridde mu ddwaaliro e Iganga enkya ya leero.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East, James Mubi, abamu ku abaafudde kuliko Ibrahim Waiswa okuva e Bugweri, Afuwa Munaba, okuva Budaka, Florence Kyazike abadde mutuuze mu disitulikiti y’e Luuka, Umar Okwi okuva e Iganga ate Simon Lokutu ne Godfrey Muhwesi babadde batuuze mu disitulikiti y’e Bugiri.

Mubi agamba nti egimu ku mirambo gikwasiddwa ab’enganda, okutekateeka okuziika.

Ate akulira ‘ward’ y’abantu abagudde kabenje ku ddwaaliro e Iganga Issa Isabirye agambye nti abamu ku balwadde abafunye ebisago, bavudde mu mbeera embi era tewakyaliwo kutya kyamaanyi mu kiseera kino.