Aba mu Uganda Tulafiki batoongoza Yunifoomu empya

Poliisi y’oku nguudo (Tulafiki) esabukuludde yunifoomu empya, egenda okweyambisibwa abasirikale baabwe wakati mu kutambuza emirimu.

Yunifoomu etongozeddwa omukwanaganya wa Poliisi ku nsonga z’ebyobufuzi, AIGP Asan Kasingye ku kitebe kya Poliisi e Naguru.

Yunifoomu empya  ya kakki ng’ekitongole kya Poliisi kyokka omusipi gusigadde mweru nga n’enkofiira kuliko enjeru ssaako ne bulaaka ng’eriko ekyeru. Newankubadde kakki etongozeddwa, aba tulafiki basigaza Yunifoomu yabwe enkadde enjeru wakati mu kutambuza emirimu gyabwe.

Yunifoomu empya eya Tulafiki
Related Stories
Prince Philip dead: Queen’s husband has died – Here Is his net worth

What is Prince Philip's net worth? Prince Philip had a net worth of £30million ( Read more

ANTI KALE! Mugume temugenda kufa, abasawo bagumizza abantu ku AstraZeneca wa Covid-19

Mugume temugenda kufa lwa AstraZeneca wa Covid-19 Okutya kweyongedde mu ggwanga Uganda olw'abantu abeyongera okufa Read more

AIGP Kasingye era ye ssentebe w’olukiiko olwekeneenya yunifoomu ya Poliisi, agamba nti Yunifoomu zonna zigenda kukolebwa fakitole ya Poliisi era buli musirikale agenda kufuna yunifoomu 2.

Mu ngeri y’emu olukiiko lwa Poliisi lugambye nti buli musirikale ali ku ddaala lya ‘detectives’ agenda kuweebwa essuuti bbiri (2) eza Kawunda era bagenda kweyambisa Kampuni ya Nytil.

Kasingye agamba nti abasirikale ba ‘detectives’ tebakyafuna kasiimo okuva mu kitongole kya Poliisi era y’emu ku nsonga lwaki olukiiko lwa Poliisi olw’oku ntikko lwakanyizza okubawa essuuti, okubanguyiza mu ntambuza y’emirimu.

Assistant Superintendent of Police ASP Ruth Kyobutungi era addumira Poliisi ya Tulafiki mu Kampala East agamba nti musanyufu nnyo olwa Yunifoomu empya ebawereddwa ate nga yatungiddwa bulungi.

Kyobutungi agamba nti Yunifoomu empya eganda kuyamba nnyo abakyala n’abasajja okwanguyirwa mu ntambuza y’emirimu.

Ate Poliisi mu disitulikiti y’e Kakumiro ekutte omusirikale special Police constable- SPC ku misango gy’okutta omuntu.
Julius Alaku, omusirikale ku Poliisi y’e Kikwaya police post e Kakumiro yakwattiddwa ku misango gy’okutta John Barugahare abadde akwattiddwa ng’atwaliddwa ku Poliisi y’e Kikwaya.

Barugahare attiddwa mu kiro ku ssaawa nga 5.
Kigambibwa Barugahare yabadde agezaako okutoloka okuva mu kaduukulu ka Poliisi, omusirikale Alaku kwe kumukuba amasasi.

Barugahare yafudde nga bamutwala mu ddwaaliro lye Kakumiro Health Center IV okufuna obujanjabi.
Julius Hakiza omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine agamba nti omusirikale Alaku akwattiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Hakiza agamba nti omulambo gukyali mu ddwaaliro lya Kakumiro Health center IV okwekebejjebwa.