Bobi Wine ategedde Pulezidenti Omutuufu, akwattiddwa ng’omubbi w’akassimu era banna bakaabye ‘woowe nze’.

Poliisi eguddewo emisango ku bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) 10 abakwattiddwa emisana ga leero nga bagezaako okwekalakaasa mirembe.

Abakwattiddwa bakulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), omuwandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya, omwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi, Omubaka omulonde owe Kawempe North Muhammad Ssegirinya, Derick Nyeko eyalondeddwa e Makindye East ssaako n’abantu abalala.

Poliisi ekakanya obujagalalo ebakwatidde ku Mabirizi complex nga bagezaako okutambula okugenda ku City Square mu Kampala nga bawakanya abantu abazze bawambibwa, okukwattibwa n’okuttibwa ku ludda oluvuganya.

Bano nga bakutte ebipande ebiraga abamu ku bantu abakwatibwa ebitongole ebikuuma ddembe, olukwatiddwa, batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS.

Related Stories
Prince Philip dead: Queen’s husband has died – Here Is his net worth

What is Prince Philip's net worth? Prince Philip had a net worth of £30million ( Read more

ANTI KALE! Mugume temugenda kufa, abasawo bagumizza abantu ku AstraZeneca wa Covid-19

Mugume temugenda kufa lwa AstraZeneca wa Covid-19 Okutya kweyongedde mu ggwanga Uganda olw'abantu abeyongera okufa Read more

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Kyagulanyi ne banne baguddwako omusango okwo kukuma mu bantu omuliro n’okunga abantu okwekalakaasa.

Wabula Kyagulanyi ne banne mu kukwatibwa, Poliisi ewaliriziddwa okukuba amasasi mu bbanga okugumbulula abantu abazze okubeegatako.

Kyagulanyi olukwattiddwa, aziddwayo mu makaage e Magere mu Tawuni Kanso y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso wakati mu byokwerinda wabula banne, Poliisi ebakuumidde ku CPS.

Kyagulanyi yalangirira okwekalakaasa okw’emirembe ng’aliko ensonga 4 bye yateeka mu ddiiro omuli okubanja obuwanguzi bwe ku bukulembeze bw’eggwanga lino, Gavumenti okomya okutwala abantu babuligyo mu kkooti z’amaggye, okuyimbula abantu bonna abazze bakwatibwa, ssaako n’okuyimbula abantu bonna abazze bawambibwa.

Bobi asobodde okweyambisa omukutu ogwa ‘Twitter’ era avumiridde ekya Poliisi okumulemesa okwekalakaasa mu mirembe okusinga abantu okukaaba nti woowe

Bobi Wine agamba nti bannayuganda betaaga eddembe lyabwe okwekalakaasa mu mirembe.

Mungeri y’emu agambye nti ne banne abakwattiddwa, bayimbuddwa nga tebaguddwako musango gwonna.

Wabula akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Ssande, ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yagambye nti aba NUP bakoze bulungi nnyo okugyayo omusango mu kkooti ensukkulumu kuba tebalina bujjulizi.

Museveni yagambye nti aba NUP benyigira mu kubba obululu nga bayambibwako abamu ku bakozi mu kakiiko k’ebyokulonda.

Mungeri y’emu yagambye nti tewali muntu yenna ayinza kutabangula ggwanga lino wadde okulemesa okulayira kwa Pulezidenti.


  • 360
    Shares