Eddy Mutwe ne Nubian Li baweddemu essuubi, omulamuzi Nambayo akatyemudde akawungeezi ka leero.

Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Esta Nambayo agobye okusaba kwa bannakibiina ki National Unity Platform (NUP),  eky’okuyimiriza okubatwala mu kkooti y’amaggye okuwozesebwa n’okuwakanya emisango egyabagulwako.

Abakwate omuli Edward Sebufu amanyikiddwa nga Eddy Mutwe nga y’akulira ttiimu ya bakanyama ekuuma Kyagulanyi,  Bukeni Ali (Nubian Li) ne banaabwe 47 bali ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli amasasi mu ngeri emenya amateeka era omusango gwabwe guli mu kkooti y’amaggye e Makindye.

Wabula bannamateeka baabwe, nga bakulembeddwamu Fredrick Kalule, baddukidde mu kkooti enkulu okusaba, eky’okuyimiriza okubatwala mu kkooti y’amaggye ate nga bantu ba buligyo, okuwakanya emisango egibavunaanibwa, okutyoboola eddembe lyabwe omuli okubalemesa okusisinkana bannamateeka baabwe, aba famire ssaako n’abasawo.

Wabula omulamuzi Nambayo agobye okusaba kwabwe era agambye nti ensonga zaabwe teziriimu nsa, nga balina okusigala mu kkooti y’amaggye okwewozaako.

Mungeri y’emu agambye nti balemeddwa okuleeta obujjulizi obulaga nti, abasibe batyoboola eddembe, okubalemesa okusisinkana bannamateeka baabwe, abasawo ssaako ne famire zaabwe.

Oluvudde mu kkooti, munnamateeka Kalule agambye nti bagenda kwekeneenya ensalawo y’omulamuzi okusalawo ekiddako.

Mungeri y’emu agambye nti wadde basigaddeyo mu kkooti y’amaggye, abantu baabwe tebalina musango. Kalule asabye famire z’abakwate okusigala nga bagumu era agamba nti bagenda kweyambisa amateeka okutaasa abantu baabwe abali mu kkomera.

Ku bigenda mu maaso mu kkooti, abamu ku basibe abali mu kkomera, baweddemu essuubi ly’okuddamu okulaba ku famire zaabwe.

Ku basibe 49, abali mu kkooti y’amaggye, 13 kkooti yabakkiriza okweyimirirwa okusobola okufuna obujanjabi.

Abasigadde abali ku limanda mu kkomera e Kigo ne Kitalya, kkooti egamba nti singa bayimbulwa, bayinza okutabangula ekibuga Kampala.

Abavunaanibwa, bakwatibwa nga 30, December, 2020 mu disitulikiti y’e Kalangala, Pulezidenti w’ekibiina kyabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine)  bwe yali anoonya akalulu, ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga lino.

Wadde omulamuzi wa kkooti esookerwako e Masaka yabayimbula kakalu ka kkooti nga 4, Janwali, 2021 ku misango gy’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutambuza Covid-19, amaggye gabakwata ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka ne batwalibwa mu kkooti y’amaggye e Makindye.