Kyaddaki Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo awadde ensonga bbiri (2), lwaki yagaana okuva mu musango gwa Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ogwali gutwaliddwa mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa Munna National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okuwedde nga 14, Janwali, 2021.

Kinnajjukirwa nti munnamateeka Male Mabirizi yaddukira mu kkooti ng’asaba Ssaabalamuzi Owiny-Dollo okuva mu musango era ezimu ku nsonga zeyawa, kwe kuba nti Owiny-Dollo yali munnamateeka wa Pulezidenti Museveni mu kulonda kwa 2006, munna Forum for Democratic Change-FDC Dr Kizza Besigye bwe yali addukidde mu kkooti, okuwakanya obuwanguzi bwa Museveni ku bwa Pulezidenti.

Mungeri y’emu agamba nti Ssaabalamuzi Owiny-Dollo yasisinkana Pulezidenti Museveni mu kiseera Kyagulanyi ng’atutte omusango mu kkooti, ekiraga nti alemeddwa okulaga ekifaananyi nti yetengeredde.

Wabula enkya ya leero, Ssaabalamuzi Owiny-Dollo awadde ensonga ze lwaki yagaana okuva mu musango era agambye nti kituufu yageenda mu State House Entebe kyokka yali ku mukolo gw’okujjukira okutemulwa kw’eyali Ssabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Janan Luwum eyattibwa ku mulembe gwa Amin mu 1977. Luwum agambibwa nti yali munnaddiini ateerya ntama eyali ayogera ku bikyamu ebyaliwo mu kiseera ekyo.

Mungeri y’emu agambye nti kituufu yali munnamateeka wa Museveni mu kkooti ku misango gy’okulonda mu 2006 kyokka ebbanga ligenderedde nga tewali nsonga yonna Mabirizi akomyewo ebikadde.

Related Stories
Prince Philip dead: Queen’s husband has died – Here Is his net worth

What is Prince Philip's net worth? Prince Philip had a net worth of £30million ( Read more

ANTI KALE! Mugume temugenda kufa, abasawo bagumizza abantu ku AstraZeneca wa Covid-19

Mugume temugenda kufa lwa AstraZeneca wa Covid-19 Okutya kweyongedde mu ggwanga Uganda olw'abantu abeyongera okufa Read more

Munnamateeka Male Mabirizi

Oluvudde mu kkooti, Munnamateeka Mabirizi agambye nti Ssaabalamuzi Owiny-Dollo asukkiridde okuwebuula ekitongole ekiramuzi era balina okulwana okumuggya mu offiisi.

Mabirizi agambye nti agenda kweyongerayo mu kkooti ya East Africa okunoonya obwenkanya mu kkooti.

Mu kulonda okwa 14, Janwali, 2021, Kyagulanyi yakwata kyakubiri ng’okulonda kwawangulwa ssentebe wa NRM, Pulezidenti Museveni.

Oluvanyuma Kyagulanyi yaddukira mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa Museveni kyokka mu sabiiti bbiri (2) zokka, omusango yagugyeyo mu kkooti era ezimu ku nsonga lwaki yakikoze, agamba nti kkooti okumulemesa okutwala obujjulizi mu kkooti, y’emu ku nsonga lwaki yagyeyo omusango.

Bya Nakaayi Rashidah


  • 76
    Shares