Ekereziya efulumizza entekateeka z’okuziika Ssaabasumba Lwanga, bintu bya kaadi

Ekereziya efulumizza entekateeka z’okuziika abadde abadde Ssaabasumba wa Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga olunnaku olw’enkya ku Lwokuna.

Okusinzira ku Rev. Fr Nicholas Mulumba, akulira eby’amawulire mu busumba bwe Kampala, wakati mu kulwanyisa Covid-19, ekereziya eyise abantu 500 bokka okwetaba ku mikolo gy’okuziika ku lutikko e Lubaga omuli Bannadiini, baminisita okuva mu gavumenti eya wakati, Mmengo, abakiise ba Palamenti, aba famire ssaako n’abantu babuligyo abasamusaamu.

Mulumba agamba nti basuubira abagenyi okutuuka okuva ku ssaawa 1 ey’okumakya, okuva ku ssaawa 2;00 – 3:30 ez’okumakya, abantu okufuna omukisa okukuba eriiso evanyuma ate okuva ku ssaawa 4, balina okuzaako ekitambiro ky’emissa nga kigenda kukulemberwamu Ssentebe w’ekibiina ekigatta Abasumba mu ggwanga ekya Uganda Episcopal Conference Rt. Rev. Joseph Anthony Zziwa, okuva ku ssaawa 6, abantu okuteeka ebimuli ku Ssanduko ya Ssaabasumba Lwanga ssaako n’abakungu ab’enjawulo okufuna omukisa okwogera oluvanyuma kuddeko okuziika Ssaabasumba Lwanga mu lutikko munda.

Ate  ekitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi, kyongedde okunyweza ebyokwerinda okutangira omuntu yenna eyinza okutabangula emikolo gy’okuziika Ssaabasumba Lwanga.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, abasirikale abali mu Yunifoomu n’abatali, basindikiddwa e Lubaga okwongera okunyweza ebyokwerinda.

Owoyesigyire agamba nti olunnaku olw’enkya, enguudo ezimu zigenda kuggalwa, okuwa omukisa abantu bokka abayitiddwa abalina sitiika ne kaadi, okutambula obulungi, okwetaba mu kuziika.

Ssaabasumba Lwanga yafa sabiiti ewedde ku Lwomukaaga nga kyavudde ku mutima kwesiba era okusinzira ku ntekateeka, wakuziikibwa ku ssaawa 8.

Olunnaku olwaleero, namungi w”omuntu akadde kweyiwa ku kiggya kya bajjulizi e Namugongo, okwetaba mu kitambiro ky’emissa, eky’okusabira omwoyo gw’omugenzi.

Okusaba kukulembeddwamu Omusumba w’e Masaka Severus Jjumba era mu bigambo bye, agambye nti Dr.Lwanga abadde musajja w’amaanyi mu kwogerera abatalina bwogerero.

Mungeri y’emu Jjumba, agamba nti Dr. Lwanga abadde musaale mu kuyimusa embeera z’abantu, omusajja omwetowaze, era okufa kwe kulese eddibu ddene mu Kereziya.

Wakati mu kungubaga, abakungubazi basigadde balina ku ssanyu nga ku mulundi guno bakkiriziddwa, okuba eriiso evanyuma ku mugenzi.

Newankubadde bakkiriziddwa, bakubye omulaanga mu kujjukira ebirungi ebikoleddwa omugenzi omuli okuyimusa ekereziya, ebyenjigiriza, n’okulakulanya abantu.

Okufuna ebirala ebifa mu ggwanga https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1206654023085794