Paapa alonze Ssemwogerere!

Paapa Francis alonze Bishop w’essaaza lya Kasana-Luweero Paul Ssemwogerere okubeera Ssaabasumba w’essaza ekkulu lya Kampala ow’ekiseera, okuyambako mu kutambuza emirimu egibadde gitambuzibwa Omugenzi Dr. Cyprian Kizito Lwanga.

Ssaabasumba Lwanga aziikiddwa akawungeezi ka leero, ng’ateekeddwa mu nnyumba ye ey’oluberera ku ssaawa 9 n’eddakika 10 ng’emikolo gikulembeddwamu Ssentebe w’ekibiina ekigatta Abasumba mu ggwanga Rt. Rev. Joseph Anthony Zziwa.

Nga batekateeka, okumuteeka mu nnyumba ye ey’olubeerera, abakungubazi bategeezeddwa nti paapa alonze Bishop Ssemwogerere, okugira ng’ayambako okutambuza emirimu mu Kampala, egibadde gikolebwa Ssaabasumba Lwanga.

Bishop Ssemwogerere wadde alondeddwa okuyambako mu kutambuza emirimu gya Kampala, wakusigala ng’akola emirimu gye e Kasana-Luweero ng’alina okutambuza emirimu, mu masaza abbiri (2).

Bishop Zziwa agumizza Abakurisito e Luweero – Kasana okusigala nga basanyufu, okusinga okulowooza nti Bishop waabwe atwaliddwa.

Ekitambiro ky’emissa ekisembeyo, ekiwerekedde ssaabasumba Lwanga kikulembeddwamu Rt. Rev. Zziwa era mu bigambo bye, atendereza emirimu amatendo, egikoleddwa omugenzi.

Bishop Zziwa agambye nti omugenzi abadde alina omukwano, okuyimusa emirimu gye Kereziya, okuyimusa embeera z’abantu era okufa kwe, kulese eddibu ddene mu kereziya.

Mu kuziika Ssaabasumba Lwanga, Ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akiikiriddwa omumyuka we Edward Kiwanuka Ssekandi.

Mu bigambo bye, atendereza omugenzi ng’omusajja abadde omukakamu mu kutambuza emirimu era akoze nnyo mu kutumbula eddini n’okuyimusa embeera z’abantu.

Mu ngeri y’emu ne Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi 11 akungubagidde Ssaabasumba Lwanga ng’omusajja abadde omukozi, omwetowaze ku nsonga z’obwa Kabaka era akoze nnyo okutumbula enkolagana wakati we Kereziya n’Obuganda.

Kabaka akikiriddwa, katikkiro wa Buganda munnamateeka wa Charles Peter Mayiga era asasidde nnyo Obuganda, Ekereziya ssaako ne famire.

Okuziika Ssaabasumba Lwanga kwetabiddwako abakungu abenjawulo omuli Maama wa Buganda Nabagereka Sylvia Nagginda, Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Ssaabawandiisi wa NRM, Justine Lumumba Kasule, abakiise ba Palamenti, Baminisita.

Ssaabasumba Lwanga yafudde sabiiti ewedde ku Lwomukaaga nga kivudde ku mutima okwesiba.

Afiiridde ku myaka 68 era ye muntu ow’okusatu okuziikibwa mu lutikko munda e Lubaga.

Ssemogerere alondeddwa, yazaalibwa nga 30, June, 1956 nga mu kiseera kino eweze emyaka 65.

Ebirala mu mawulire – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/778086133125440