Mugume temugenda kufa lwa AstraZeneca wa Covid-19

Okutya kweyongedde mu ggwanga Uganda olw’abantu abeyongera okufa naye nga ekibasse, tekimanyiddwa.

Okusinzira kw’alipoota mu kitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, mu myaka 4 egiyise, abantu bazze bafa naye nga ekibasse, kizibu kyakumanya.

Alipoota eraga nti mu 2019, abantu 3,316 bazuulibwa nga bafudde mu ngeri etamanyiddwa, 2018 – 3, 318,  2017 – 3,123 ate 2016 –  2,963.

Abamu ku bantu abazuulibwa nga bafudde basangibwa ku nguudo, mu bbaasi, paaka ez’enjawulo, abagudde mu nnyanja, mu myala ssaako ne mayumba gaabwe.

Omu ku basirikale agaanye okwatuukiriza amaanya ge, agambye nti okunoonyereza kulaga nti abamu, batugibwa ne battibwa, okubawa obutwa ssaako n’okutambula nga balina endwadde.

Wabula akulira abasawo mu kitongole kya Poliisi Dr. Moses Byaruhanga agambye nti mu bbanga lya myaka 4, baakebera emirambo 8,685, nga  3,343 battibwa, 2,905 batomerwa ku nguudo ate 1,068 baafa mu nfa yabuligyo.

Dr. Byaruhanga, agamba nti waliwo endwadde ezanguya okutta abantu omuli ez’omutima okwesiba nga kivudde ku nsonga ez’enjawulo.

Mungeri y’emu agambye nti okukendeza omuwendo gw’abantu abafa mu ngeri etamanyiddwa, akubirizza abantu okujjumbira okwekebeza okuzuula endwadde ezibaluma.

Mu Uganda, abadde ssaabasumba wa Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga eyaziikiddwa akawungeezi k’olunnaku mu lutikko e Lubaga, yafudde nga kivudde ku mutima okwesiba, ekintu ekyawuninkiriza eggwanga lyonna.

Mungeri Uganda yakweyongera okweyambisa eddagala lya AstraZeneca mu kulwanyisa Covid-19 newankubadde, ebigambo, byongedde okuyitingana nti waliwo abantu abafudde nga kivudde mu kufuna ddoozi mu kwetangira okulwala Covid-19.

Ebigambo ebitambula, biraga nti omuntu yenna singa afuna ddoozi ya AstraZeneca, omusaayi guyinza okwetugga, omutima ne gwesiba, ekiyinza okuviirako omuntu yenna okufa.

Uganda mu kiseera kino, yakawa ddoozi abantu 144,025 nga bakulembeddwamu omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.

Wabula Dr Alfred Driwale akulira ekibiina ekikola ku by’okugema ekya Uganda National Expanded Programme on Immunization (UNEPI), agamba nti mu kulwanyisa Covid-19, Uganda yakusigala nga yeyambisa AstraZeneca.

Agamba omuntu yenna singa afuna ddoozi, ayinza okunafuwamuko, okulumwa omutwe, omubiri kyokka tekitegeeza nti eddagala lya Bulabe.

Okufuna ebisingawo- https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/466681811118455